Psalms 33

Zabbuli ya Dawudi.

1 aMuyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
2 bMutendereze Mukama n’ennanga,
mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
3 cMumuyimbire oluyimba oluggya;
musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.

4 dKubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
mwesigwa mu buli ky’akola.
5 e Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

6 f Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
7Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
8 gEnsi yonna esaana etyenga Mukama,
n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
9 hkubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
n’alagira n’eyimirira nga nywevu.

10 i Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 jNaye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

12 kLirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 l Mukama asinziira mu ggulu
n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 masinziira mu kifo kye mw’abeera
n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 nYe y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
ne yeetegereza byonna bye bakola.

16 oTewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 pOkusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 qNaye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 rabawonya okufa,
era abawonya enjala.

20 sTulindirira Mukama nga tulina essuubi,
kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
21 tMu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
22Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,
Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.
Copyright information for LugEEEE